President wa  Uganda Yoweri Kaguta Museveni Museveni ne Mukyalawe Janet Kataaha Museveni basiibye batalaaga eggombolola y’e Lubaga mu Kampala mu nteekateeka gyebalimu ey’okulambula abaganyuddwa mu nkola ya government eya Parish Development Model, n’okuggulawo akatale k’e Busega.

Alambudde omukyala Fausta Nalweyiso omulunzi w’embizzi nnakinku ne banne abalala abenyigira mu kulundira ewafunda, nebeerwanako okulwanyisa obwavu.

President Museveni agambye nti kimuzzaamu amaanyi okusanga abantu abafunvubidde okweggya mu bwavu naddala nga bayita mu nteekateeka za government.

Asiimye  Fausta Nalweyiso olw’okwerwanako era naamuwa obukadde bwa shs10 azongere mu polojekiti ye, ate  abalala banne 10 n’abawa buli omu akakadde ka shilling kalamba  bongere mu polojekiti zaabwe

 

President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, atenderezza abakulembeze mu bitundu by’omu Kibumbiro zone A, mu ggombolola ye Lubaga mu Kampala, olw’okukulemberamu enkulakulana nga bakozesa enkola eya PDM n’okukola business ezenjawulo.

President Yoweri Kaguta Museveni agambye nti enkola eno eyambako okukyusa obulamu bwantu n’okutumbula ebyenfuna mu maka, era nti abantu nga bano aberwanyeeko basaana okwongeramu ensimbi okwekulakulanya.

President Yoweri Kaguta Museveni era asoomozezza abantu abawangaalira mu bibuga okwewala okwekwasa n’okwetulako, wabula bafube okulowooza ku binayongeza enfuna yaabwe okulwanyisa obwavu.

 

Ssenkulu w’ekitongole ekidukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital city Authority, (KCCA), Hajjati Sharifah Buzeki, yasinzidde mu kutongoza akatale ke Busega naagamba nti kayambyeko banna Kampala, okufuna emirimu nenkulakulana era nti KCCA eriko ne tekinolojiya omujja gwereesa mu nzirukanya yoobutale obwenjawulo.

 

Minister wa Kampala n’emiriraano, Hajjati Minsa Kabanda, agambye nti government  eri mu nteekateeka eyokukwasizaako banna kibuga okutumbula ebyenfuna zaabwe okuyita mu bintu ebyenjawulo.

 

President Museveni olunaku olusoose mu Kampala alumalidde mu bitundu by’omu Ndeeba, gyalambulidde bannamakolero abatonotono ne bamakanika abaliko byebaganyuddwa nga bakozesa ensimbi za PDM.