President Museveni alonze Lino Anguzu okufuuka Ssaabawaabi w'emisango gya government omuggya
President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni alonze Lino Anguzu okufuuka Ssaabawaabi w’emisango gya government omuggya- DPP.
Anguzu y’abadde omumyuka Ssaabawaabi, era ng'abadde akulira ne wofiisi evunaanyizibwa ku misango egizzibwa ebweru w'eggwanga.
Kati alondeddwa okudda mu bigere bya Jane Frances Abodo abadde Ssaabawaabi.
Abodo President yamusindise kukulira abalamuzi ba Kkooti enkulu-Principal Judge.
Omwogezi wa wofiisi ya Ssaabawaabi Jacqueline Okui agambye nti erinnya lya Lino Anguzu lisindikiddwa mu parliament okusooma okukakasibwa n'oluvannyuma akwasibwe wofiisi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment