President Museveni agambye nti governmrnt ye eruubirira okuyambako abakyala mu by’enkulakulana era ssimwetegefu kulaba abazzaayo emabega era nti balina okuganyulwa mu nteekateeka zonna ezissibwa ku mwanjo.
Abawabudde nti wadde government efuba okubayambako, nabo nasaanidde okwenyigira mu pulojekiti ezenjawulo zetaddewo okweggya mu bwavu.
President Museveni era mu bubaka bwe ku mukolo guno, agambye nti abakyala balina okwongera okukwasizaako abaana abawala bajjumbire okusoma bwebaba bakubaako kyebatuukako mu nsi.
President Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, aliko abakyala 34 okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo baawadde emidaali egy'obwanaggwano, olw'obuweereza obulungi eri ensi yabwe.
Abakyala bano kuliko banna byanfuna, abasirikale, bannabyabufuzi, abantu baabulijjo nabalala abaliko byebakoze okukyusa obulamu bwabalala mu bitundu gyebawangaalira.
Minister w'ekikula ky'abantu Betty Amongi agambye nti wakyaliwo amateeka ageetaga okuyisibwa n’okuteekebwako emikono, kko nokukola ennongereza mugamu okutumbula embeera zaabakyala mu ggwanga.
Akulira ekibiina ky'amawanga amagatte mu Uganda, Leonard Zulu, asinzidde ku mukolo guno, najjukiza government ya Uganda okwongera okuteekawo enkola ezisoboesa abakyala okufuna eddembe lyabwe n'obwenkanya.
Ssentebe w'akakiiko akataba ebibiina byabakyala mu Uganda, aka Uganda Women's Council, Hajat Faridah Kibowa, naye asabye government okwongera abakyala mu bifo ebyenkizo n'okubangulwa mu by'obukulembeze.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment