Ekisanja sikyakubongoota;President Yoweri Museveni azeemu okujukiza abakulembeze ne bannauganda bonna nti ekisanja kino sikyakubongoota era balina okwesiba ebbiri kubanga ayagala abantu abamanyi okukola. Abagenda okukuba ebyeyo; Wabula president Museveni atabukidde banauganda abenyooma n’obutekkirizaamu naabamu nebatuuka nokuddukira mu mawanga ga Bawarabu okunoonnya emirimu, abawadde gabuwa bazuukuke nti kubanga Uganda erina buli kyetaagisa omuntu okukola. Olutuula luno lukubiriziddwa Sipiika wa parliament Jacob Markson Oboth Oboth.m naye asabye Ababaka mu Parliament eye 12 bafube nnyo olwanirira enkulakulana ya bannauuganda nga bannyikiza enkola za government ez'okulwanyisa obwavu.#
President Museveni ayogeddeko eri eggwanga n'okuggulawo omwaka gwa parliament omujja 2026/2027 - ayanjudde amabago g'amateeka 38 agalina okwekenneenyezebwa mu mwaka guno
Mzee Museveni agamba nti abakulu baziηmizza olutulo lwa government olw'okukulakulanya banauganda , nga ebiseera ebisiinga babimalira mu Kampala mu wofiisi n'okugenda emitala w'amayanja, neberabira obuvunayizibwa bwabwe.
Enguudo;
President Yoweri Kaguta Museveni abuulidde eggwanga nti government efubye okukola enguudo ezituuka mu bitundu ebyenjawulo okuli ebyalo ,ebibuga ne Kampala ,nalagira Minister w'ebyenguudo okulondoola n'okulwanyisa ababba ensimbi ezikola enguudo.
Obulimi n'obulunzi;
President ategezeezza nti government etadde ensimbi eziwera mu by'obulimi saako okusomesa abantu okwettannira enkola z'okwekulaakulanya omuli emyooga , Parish Development model nendala era nti abawulirizza okuwabulwa kwe baganyuddwa byansusso.
Agambye nti ebyobulunzi nabyo byongeddwaamu amaanyi nga kakano obungi bw'amata agatundibwa nebikolebwa mu mata Uganda byetunda ebweru nebyo byeyongedde.
Eby'okwerinda;
Ku nsonga yeby’okwerinda Omukulembeze ategezeezza nti egye lyeggwanga elya Updf likoze Omulimu gwamaanyi okukuuma obutenkevu era mpaawo kilemesa banansi okukola emirimu gyabaawe.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment