Police n’abawagizi ba National Unity Platform balidde matereke bw’ebadde eremesa President wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Sentamu  okutuuka mu district ye Kamuli ewabadde wategekeddwa olukungaana lw’okukunga abawagizi.

Police etadde emisanvu, n’ebimotoka byayo n’ebikiika mu luguudo wakati mu kitundu kye Buwoolero ku nsalo eyawula Jinia ku Kamuli, okumulemesa okweyongerayo.
Abantu abawerako batuusiddwako ebisago olw’akavuvungano akabaddewo, olw’amasasi agakubiddwa mu bbanga n’omukka ogubakagala  okugumbula ebikumi n’ebikumi by’abawagizi ababadde balemeddeko.
Mercy Walukamba akulira eby’okulonda mu NUP avumiridde abakuuma ddembe olwokukozesa amaanyi agasusse okutulugunya bana NUP abatabadde nakyakulwanyisa kyonna.
Akulira eby’okukunga banna NUP mu buvanjuba bwe ggwanga Kaluuya Andrew agamba nti abantu babwe bakoseddwa n’ebidduka byonoonebwa mu kuvuvungano akabaddewo.
Kaluuya agambye nti wadde nga babalemesezza okweyongerayo e Kamuli basazeewo okukuuma emirembe balinde olunaku olw’enkya bagende mu district ye Bugiri.

Ab’ebyokwerinda obwedda batadde zi  kabangali zabwe ku lutindo lwe Jinja era Kyagulanyi ne banne babadde bakatuuka ku lutindo luno, omukka ogubalagala gutandikiddewo okumyooka.

Ssenyonyi oluvanyuma lw’okuwanyisiganya ebisongovu ne police nga yemulugunya olw’okubakubamu omukka ogubalagala ng’ate babadde batambula mu mirembe, emaze n’ekkiriza Kyagulanyi nebanen nebayita ku lutindo neboolekera e Kamuli, wabula tebaganyizza kutuuka mu kifo ewabadde wagenda okubeera olukungaana.

 

Wabula Kyagulanyi ssentamu abasuubizza nti bakugenda mu maaso n’enteekateeka zabwe ez’okusaaggulira ekibiina kyabwe obuwagizi okwetoloola eggwanga lyonna.