Ssentebe wa SACCO yabasirikale ba police  eya  Exodus Cooperatives and Credit Society Limited Wilson Omoding ayitiddwa kkooti  e Nakawa, ku  emisango egyekuusa ku kukuwola ssente nga talina layisinsi.

Omoding  ayitiddwa mu kkooti wamu n’omuwandiisi wa SACCO eno Daniel Ogwok nga 13 December, 2024 okuvunaanibwa emisango 3 egyabaggulwako Munnamateeka  Steven Kalali.

Munnamateeka Kalali agamba nti wadde akimanyi nti Sacco ya Exodus  ewa  bammemba baayo empeereza y’ebyensimbi, tebangako na layisinsi  okuva mu bitongole ebifuga eby’ensimbi nga Uganda Microfinance Regulatory Authority, ne Bank of Uganda  egikkirizza okuwola nsimbi.

Okusinziira ku Kalali, obumenyi bwamateeka mu nkola y’e mirimu mu Exodus Sacco bwakakasibwa alipoota ya Parliament n’obubaka okuva mu bitongole ebivunaanyizibwa ku kulungamya ku  by’ensimbi omuli Bank of Uganda ne Uganda Micro Finance Regulatory Authority .

Kalali mu kwemulugunya kwe  ategeezezza nti Exodus SACCO erina bammemba  abasoba mu mitwalo 30,000 abayingizibwa  mu Sacco eno mu  ngeri etali ya kyeyagalire, era nti abasirikale basalibwako emisaala gyabwe  ensimbi eziri  wakati wa shilllingi emitwalo 20,000 ne 50,000  buli mwezi nga tebasoose kusabibwa lukusa.

Bino webigyidde nga Exodus Sacco kyeggye esiimibwe olw’enkola yaayo ey’obwerufu mu nkola y’emirimu, era nga yakwata ekifo kya kubiri ku Sacco ezisiinga okukola obulungi mu ggwanga.

Bisakiddwa: Betty Zziwa