Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu egikolebwa  ayaliko Omukubiriza w’’olukiiko lwa Buganda Ow’ekitiibwa Rotarian Neslson Kawalya.

 

Obubaka bwe Mpologoma busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusaba okwokwebeza Katonda olw’obulamu n’emirimu gy’Owekitiibwa Nelson Kawalya.

Omuteregga agambye nti Nelson Kawalya akaoze emirimu mingi egigasizza abantu bangi ate nga teyebalira.

 

Okusaba kubadde  mu lutikko e Namirembe era nga kwetabiddwako abakulembeze ku mitendera egyenjawulo mu Buganda, mu government eya wakati, ekkanisa, ne Rotary.

Kwetabiddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, omumyuuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa , Nnalinnya  Dorothy Nassolo,Nalinnya Sarah Kagere ,Omulangila David Kintu Wasajja ,Owekitibwa Bbaale mugerwa , Bakatikkiro abawumula  okubadde Owekitibwa Dan Muliika, Owekitibwa  Mulwanya Muli  Ssemwogerere , Owekitibwa Eng JB Walusumbi,Owekitibwa  JC Muyingo n’abantu abalala abangi ddala.

 

Kulwa Gavumenti ya Ssabasajja, Katikkiro Charles Peter Mayiga ategezeeza  nti emirimu gyakabaka gikolebwa abantu abamalirivu ,nga kino kyeyolekera mu buwereza bw’Owekitiibwa Nelson Kawalya, era bingi byeyakola.

 

 

Kulwa Government eya wkati Minister Omubeezi owa Technology Owekitibwa Joyce Juliet Nabbosa Ssebugwaawo  yebazizza Omugenzi olwokulwanira enkulakulana y’e ggwanga

 

Katikkiro we Kika kye Nsenene Ian Kabali Kalibbala  ategeezeza nti Omugenzi Nelson Kawalya alwaniridde nnyo  ensonga ze Kika n’okukumakuuma abazukulu.

Bwabadde akulembeddemu okusaba  Omulabirizi we Namirembe  Moses Banja yabazizza Omugenzi Owekitibwa Nelson Kawalya olwokuwereza ekkanisa nga teyebalira.

 

Omukubiriza wa bakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Namirembe Owekitiibwa  David Kiwalabye Male  yebazizza Omugenzi olw’amaanyi gatadde mu kuzimba n’okukulaakulanya ekkanisa.

 

Namwandu Annet  Kawalya atenderezza omukwano Omugenzi gwabadde nagwo eri famile n’abantu bonna.

Wafiiridde babadde bakajaguza amyaka 50 mu bufumbo obutukuvu nga 14 December,2024.

Bisakiddwa: Julius Ssebuliba