Ssaabasajja Kabaka asiimye naakyalira ku Mutaka Nadduli Kibaale mu maka ge e Matugga - Y'omu ku baali mu nteekateeka z'okuzzaawo Obwakabaka
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nakyalira ku Mutaka Nadduli Kibaale, amusanze mu Makaage agasangibwa ku kyalo Nakukuba mu Division ye Gombe mu ssaza Kyaddondo.
Omuteregga Nnantalinnyamukateebe mu Maka g’Omutaka Kibaale awerekeddwako Omulangira Richard Ssemakookiro.
Ssemunywa afunye akadde nawayaamu n’Omutaka Nadduli.
Omutaka Nadduli Kibaale yebazizza Maasomooji Olw’Obugenyi obubadde obw’Amagero, bwagambye nti bumuzzizzaamu amaanyi.
Omutaka Nadduli Kibaale yali musaale nnyo mu kuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda mu 1993, oluvannyuma lw’Okutaagulwataagulwa Milton Obote mu 1966 ekyaviirako Kabaka Muteesa II okuwaηηaangukira e Bungereza, n'okuwera Obukulembeze obw'ennono okumala emyaka 27.
Omutaka Kibaale yaavunaanyizibwa ku kuluηηamya Abalangira n’Abambejja ssinga wabaawo ensonga yonna.
Omutaka Nadduli Kibaale alina emyaka 96, era yoomu ku bawi b'amagezi eri president Yoweri Kaguta Museveni.
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment