BUGANDA
Ssaabasajja Kabaka aweerezza abataka ab’Obusolya obubaka obwenjawulo – abakuutidde okubeera abavumu, okunyweza obumu, okuwuliziganya n’okwagazisa abavubuka ebika byabwe
Namubiru Juliet
September 18, 2025
9:06 PM
“Okuwangula kwaffe okutusobozesezza ebbanga lyonna era okunaatusobozesa okwaŋŋanga okusoomoozebwa kwonna, kuli mu kubeera abavumu okunyweza obumu, okuwuliziganya n’okwongera amaanyi mu kwagazisa abavubuka baffe Ebika byabwe” Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatuusizza obubaka bino ku bataka era naabubasomera, mu lutuula lwabwe olubadde olw’enjawulo, lutudde mu Bulange e Mengo. Olukiiko luno lubaddemu Abataka abakulu ab’obusolya ne […]
“Okuwangula kwaffe okutusobozesezza ebbanga lyonna era okunaatusobozesa okwaŋŋanga okusoomoozebwa kwonna, kuli mu kubeera abavumu okunyweza obumu, okuwuliziganya n’okwongera amaanyi mu kwagazisa abavubuka baffe Ebika byabwe”

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatuusizza obubaka bino ku bataka era naabubasomera, mu lutuula lwabwe olubadde olw’enjawulo, lutudde mu Bulange e Mengo.
Olukiiko luno lubaddemu Abataka abakulu ab’obusolya ne ba Katikkiro baabwe, saako ba minister ba Buganda.
Omukubiriza wÓlukiiko lwÁbataka Abakulu bÓbusolya Namwama Augustine Kizito Mutumba, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwÓkulungamizibwa okwo.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment