Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda II  aweerezza obubaka obukubagiza ab’ennyumba y’Omutaka omukulu we Kika kya Mamba ,Gabunga owa 37 Mubiru Ziikwa Ow’okuna nabazukkulu olwo mutaka ono eyabula .

 

Obubaka bwa Ssabasajja  busomeddwa Minister wa Cabinet , abagenyi  n’ensonga ez’enkizo mu wofiisi ya Katikkiro   Owek. Noah Kiyamba ku mikolo egyokutereka Omutaka Omubuz,e n’okulaga omubbulukuse egibadde ku butaka bw’Ekika kye Mamba e Ssagala Buwaya mu Ssaza Busiro.

Omutanda agambye nti omugenzi  abadde muwulize nnyo eri Namulondo n’Obwakabaka bwonna.

 

Omutaka omubuze Gabunga owa 37 Mubiru Zziikwa aterekeddwa mu Nnyumba Busirike nga muni mulimu  ba Ssegabunga 8 , era aterekeddwa mu mbugo  ezisobye mu 200  n’ekinnya  kya   Fuuti 15  okudda wansi n’obugazi fuuti 5 ku 8.

Minister w’obuwangwa eNnono, Embiri n’ebyokwerinda Owek Dr Anthony Wamala, obubaka bwe abuttise Owek. Kiyimba, asabye abaddukanya Ebika okukuuma ettaka okutudde ebifo by’ennono.

Omukubirizi w’olukiiko Lwa Bataka Namwama Augustine Kizito Mutumba ng’akikiriddwa Omutaka Kidimbo Dr Grace Kizito Bakyayita asabye  Gabunga omuggya  okulwanirira Namulondo nenkulakulana y’e Kika.

 

Katikkiro wa Gabunga Kyobe Kyomubbazi Kabelenge Gerald ategezeezza nti okuzuula Gabunga  Omubbulukuse  kugoberedde   Ennono.

Okutuuza Gabunga owa 38 Mubiru Zziikwa James V

Emikolo gy’okutuuza Gabunga owa 38 Mubiru Zziikwa James V gitambulidde ku bulombolombo  omubadde  okutUuziibwa ku Jinja Siryamawolu mu mbuga ya Mulondo, okusumikirwa abantu abenjawulo, okwambazibwa ebikomo ebimuwa amaanyi okulamula ekika ,  era ono atuuziddwa Omutaka Mulondo atuuza abalidde  obwa Gabunga.

Omutaka Mulondo

Gabunga Mubiru Ziikwa James oluvanyuma lw’okutuzibwa ayogeddeko  eri abazukkulu.

Emikolo gino gyetabiddwako Abataka abakulu ab’obusolya ,abakungu okuva mu bwakabaka   , gavumenti , bana Ddiini nga bakulembeddwamu Bishop Ssalongo James Bukomeko , nabalala.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius