“Ebika y’Entabiro egatta Buganda”

Ku Mikolo gy’okutikkira Omulangira Ronald Mutebi nga 31 July, 1993   e Naggalabi Buddo mu Ssaza Busiro,   Ebika  by’abaganda ebyenjawulo  byamukolako emikolo gy’ennono,naafuuka Ronald Muwenda Mutebi II Kabaka wa Buganda owa 36.

Omutaka Kasujju Lubinga Abdu Malik Migadde ow’Olugave yasumikira   Omulangira Ronald   Mutebi  eddiba ly’Engo, era naamusaba okulamula abantu be n’obwenkanya.

Yogaayoga Kalemakansingyo!

Omutaka Nankere   ow’Emmamba   naye yatikkira Omulangira engule namukwasa Obwakabaka  okubulamula, era bingi ebirabwako Ssaabataka Ronald Muwenda Mutebi II byakoze mu myaka gino 32.

Wangaala ayi Ssebuwuufubwango!

Ccuucu Muzaawula Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll, ku myaka 32 gyeyakamala  ku Namulondo, azzizaawo ennonno y’ebika by’Abaganda n’okubinyweza, nga byali bimaze emyaka 27 nga bizaawuse oluvannyuma lw’okuggyibwa bannabyabufuzi mu 1966.

Wulugumawuluguma Empologoma ya Buganda!

Sseggwanga Musota atumbudde  eby’obulamu ng’ayita mu kujjanjaba n’okukubiriza abantu okwekebeza, okwetangira,okwegemesa nókwekuuma endwadde, ng’ayita mu nsiisira z’ebyobulamu ezitegekebwa ebitongole bye.

Aziimbye amalwaliro mu masaza ag’enjawulo, omuli Buddu, Ssingo, Kyaggwe, Bulemeezi, Busiro n’amasaza amalala enteekateeka zikoleddwa.

Wangaala Nnyininsi!

Kabaka Muwenda Mutebi II  Muzzukulu wa Muteesa ng’ayita mu buwuufu bwa Jajja we Muteesa I eyayita abazungu okuleeta okusoma n’okuwandiika mu nsi ye,  atumbudde ebyenjigiriza ng’ayita mu Kabaka Education Fund nókutandikawo amasomero okuviira ddala ku mutendera gwa Nursery okutuuka ku University.

Wangaala Matumpaggwa!

Magulunnyondo mu ngeri yeemu atonzeewo  emirimu naddala eri abavubuka ng’ayita mu kutandikawo ebitongole, nga CBS, BBS, Buganda land Board, Namulondo Investments, Buganda Heritage and Tourism Board, n’ebirala.

Lemeera lemeera Nnyinibintu!

Ekiryo Sserulanda ekimaamidde Obuganda Kabaka Mutebi II , ebirala  byakoze mu myaka 32 mulimu okutumbula eby’obulimi naddala ekirime eky’e mmwannyi era kikyusizza obulamu bwa bannauganda bangi, okutumbula eby’emizannyo ng’ayita mu Masaza n’emipiira gy’ebika, okutumbula eby’enfuna bya bantube, okuteekawo obukulembeze okuva ku batongole okutuuka waggulu, obutuusizza enteekateeka za Buganda ku bantu mu byalo gyebabeera  n’amawanga agenjawulo.

 Wangaala ayi Omuteregga!

Mu myaka 32 obumu bweyongedde mu bantu ba Beene, okukola ennyo, n’okukolera awamu mukwekulakulanya ng’abantu ba Beene, nga bayita mu bibiina by’obwegassi omuli CBS PEWOSA nebirala.

Wangaala Omuti Ogubala Ensimbi n’Ebikomo!

Empagi Sseddugge Ssabasajja Kabaka, Yasiima Emikolo emikulu egy’Amatikkirwa ge aga 32 mu mwaka 2025, gibeera ku muzikiti e Kibuli.

Emikolo gy’omwaka  gyitambulidde ku mulamwa ogugamba nti  “ Abasajja Tubeere basaale mu kulwanyisa Mukenennya Tutaase omwana omuwala

Omutaka Ow’akasolya k’Enkima Mugema Charles Mugwaanya Nsejjere, nga yoomu ku baasumikira Ssaabasajja  Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti byonna Ssaabasajja byeyeeyama ng’atikkirwa abituukirizza, namwebaza olwÓkutuukiriza Obweyamo.

Tebuka Tebuka Maaso Moogi, ggwe Ngo, ggwe Musota!