Ssentebe  wa LC5 mu  district ye Kitagwenda Mushemeza Ismail Kambanda asimbiddwa mu kkooti  ento e Kamwenge navunaanibwa  emisango egyekuusa ku kuggya ku bantu ssente ng'abasuubizza emirimu.
Okusinziira ku kakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka gwobwa bwa President aka State House Anti Corruption Unit wamu police Kambande abadde alimba abantu nti agenda okubafunira emirimu ku district era nabawa ebiwandiko byokujjuza okusaba emirimu egyo
Oludda oluwaabi lulumiriza nti  mu mwaka 2024 ne 2025  Kambanda ngali wamu naabalala abatanakwatibwa yafuna ssente  ku bantu naddala abaali banoonya emirimu egy'abasawo abazaalisa  ngabalimbyelimbye nti agenda kubafunira emirimu egyo.
Akwatiddwa oluvanyuma lw'abatuuze be Kitagwenda ab'ekubira enduulu mu kakiiko ka State  House Anti-Corruption Unit nga bamumiriza nti abadde abaggyako sente  eziri wakati wobukadde 5 ne 15 oluvannyuma lwokubalimba okubafunira  emirimu.
Kigambibwa nti ensimbi zino abatuuze abamu bazikwasa ssentebe yennyini ate abalala baazimuwa okuyita mu bantu beyali ataddewo (ba agents), abaabawa  nga ebiwandiko ebikakasa nti baweereddwa emirimu.
Abakulu mu kakiiko ka  State House Anti-Corruption Unit bagambye nti ssentebe bweyategera nti bamulonkomye yasuulawo wofiisi ye nadduka,era bulijjo babadde bamunoonya okutuusa webamuguddeko ne bamukwata nga bayambibwako police.
Okusinziira ku biwandiiko ebiri mu kkooti, sentebe omusango agwegaanye era bwatyo nasindikibwa lu alimanda okutiusa  nga 6 January omwaka ogujja 2026.
Bisakiddwa: Betty Zziwa