Ekitongole kya UPDF engineering Brigade kitandise ku mulimu ogw'okuzimba ebisaawe 7 ebigenda okutendekerwamu ttiimu ezenjawulo mu mpaka za Africa Cup of Nations, Uganda zegenda okutegeka nga ekolagana ne Kenya ne Tanzania omwaka ogujja 2027.
Omulimu ogw'okuzimba ebisaawe bino gugenda kutwala ebbanga lya myezi 8 gyokka.
Minister omubeezi ow'ebyemizannyo Peter Ogwanga, agambye nti balina essuubi ddene ddala mu UPDF Engineering Brigade nti yakukola omulimu omulungi.
Ebisaawe bino kuliko ekye Makerere, Pece Stadium, Lira University, Gulu University, Hoima Booma Grounds, Masindi Municipal Stadium ne Kyambogo University.
Obuwumbi bwa shs 19 bwebusuubirwa okusaasaanyizibwa ku mutendera ogwokubiri ogw'okuzimba ekisaawe kye Kyambogo. Ku mutendera ogwokubiri kuliko okuzimbako ekisaawe kya Basketball ne Tennis, ewamu nékirasha ekigenda okutuuza abantu 5000, ekisenge ky'abasawo, office eziddukanya emirimu nébirala. Phase eyasoose kwabaddeko okuzimba ekisaawe ewazanyirwa nókutekamu omuddo ogwómutindo, pipe zámazzi ezómulembe okuli n’ezifukirira omuddo ate nókutekamu ebitaala, generator nékikomera nébirala, nga omulimu guno gwamalawo obuwumbi 14. Okuzimba ebisaawe ebigenda okutendekerwamu ebirala okuli Hoima Booma Grounds, Gulu University, Lira University, Sir Tito Winy Secondary School e Hoima ne Pece Stadium kugenda kumalawo obuwumbi 13 ku buli kisaawe.   ,Ekisaawe kya Masindi municipal council stadium kigenda kumalawo obuwumbi.bwa shs 20. Ebisaawe bino byonna bigenda kutekebwamu omuddo ogwómutindo ddala ng'oguli mu kisaawe kye Namboole, era omulimu gwókuzimba ebisaawe bino gugenda kutwala ebbanga lya myezi 8. Ekisaawe kya Makerere University kyakuwementa obuwumbi 21, era gyonna gigenda kukolebwa UPDF Engineering Brigade.
Uganda era yakukozesa ebisaawe 3 okuli Namboole, Hoima ne Aki Bua ebinaazannyibwamu empaka za Africa Cup of Nations 2027.
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kyamalirizza enteekateeka ezisooka ez'okulambula entegeka ya Uganda, Kenya ne Tanzania ezokutegeka empaka zino. #
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe