Ababaka ba Parliament  19 bebasabye okuvuganya ku kaadi y'ekibiina kya NRM  ku kifo kya sipiika wa parliament n'omumyuka we.
Bawaddeyo empapula zabwe mu kakiiko ak'ekibiina akeby'okulonda akakulira  Dr Tanga Odoi.
Abategeezezza nti agenda  kuweereza amanya gaabwe  mu lukiiko  olufuzi  olw'ekibiina Central Executive Committee -CEC  okubasunsulamu.
Dr Tanga Odoi ategezezza nti  ababaka basatu okuli omubaka wa West Budama Central Markson Jacob Oboth Oboth ,omubaka wa Aringa south Alion Yorke Odria n'omubaka omukyala owe Masindi Florence Asiimwe Akiiki bebewandisizza okuvuganya ku kaadi ye kibiina ku kifo kya sipiika wa parliament ey'omulundi ogw'e 12.
Okusinziira ku kamisona wa kakiiko ka NRM  akeby'okulonda Ambassador James Kinobe, abewandisizza  okulwanira kaadi ye kibiina ku kifo kyomumyuka wa sipiika wa parliament bali 16.
Kuliko  Omubaka wa Ruhinda North Thomas Tayebwa,omubaka wa  Rukungiri municipality Retired General Henry Tumukunde ,Amyuka Sabawolereza wa gavumenti era omubaka wa Kyaka south Jackson Kafuuzi, omubaka wa Mawokota South Susan Nakawuki Nsambu, omubaka omukyala owa Mbale city Lydia Wanyoto ,  omubaka omukyala owa Jinja District Peace Tibyaze.
Omubaka wa Bukono County Persis Namuganza  naye yewandiisizza okuvuganya ku kaadi yekibiina ku kifo ky'omumyuka wa sipiika, wabula kakiiko kasazeewo nti ensonga ze zitunulwemu olukiiko olufuzi olwa CEC, kubanga  amateeka g'ekibiina tegakkirizza mubaka eyayingira mu  parliament obwanamunigina okuvuganya ku kaadi yekibiina ku kifo kyonna.
Ambassador James Kinobe agambye ensonga ya Namuganza bagyongeddeyo mu CEC esalewo ekyenkomeredde.
Wabula Namuganza agambye nti ye munna NRM wadde teyajjira ku kaadi ya NRM nti ye talina nsobi yonna gyakoze, era alina esuubi lyamanyi nti agenda kuwangula kaadi y'ekibiina.
Akakiiko akafuzi aka NRM kakutuula enkya kh Sunday nga 24 May,2026 ku saawa 3 ezokumakya,olwo byekanaaba kasazeewo bisindikibwe mu lukiiko lw'ababaka ba NRM olugenda okutuula mu maka g'Obwapresident e Entebe ku saawa 8.
 Abanaaba balondeddwa bagenda kuvuganya naab'ebibiina ebirala mu kalulu akagenda okukubwa parliament eyawamu ku Monday mu kisaawe e Kololo, okulonda sipiika wa parliament eye 12 n'omumyuka we.
Abadde Sipiika wa parliament eye 11 yavudde mu lwokaano, oluvannyuma lw'okutandika okunoonyerezebwako ku bigambibwa nti abadde yenyigira mu bulyake n'obukenuzi saako okukozesa obubi sente z'omuwi w'omusolo nga yegaggawaza.#