Akakiiko k'ebyokulonda ka The electoral Commission of Uganda kategeezezza nti okutwaliza awamu okulonda ku Mutendera gwa LC ey'okusatu kutambudde bulungi, wadde nga waliwo ebitundu ebimu ebibaddemu obuvuyo.
Omwogezi w'akakiiko ke byokulonda Julius Muchunguzi ategezezza cbs nti alipoota zebafunye okuva mu bitundu ebisiinga obungi, ziraze nti okulonda kutambudde bulungi.
Agambye nti obumulumulu obubaddewo mu bifo ebimu, bakutuula ng'akakiiko k'ebyokulonda babeeko byebasalawo.
Wabaddewo okulonda ba ssentebe b'amagombolola ne ba kansala babwe okwetoloola eggwanga lyonna.
Mu bitundu ebisiinga obungi okulonda kutandise kikeerezi olw'abalonzi okulwawo okugenda mu bifo gyebalondera, wadde ebikozesebwa mu kulonda byatuusiddwa mu budde.
Ebitundu ebibaddemu obunkenke
Mu bitundu ebimu okulonda abantu bakuzize, abalala abesimbyewo akalulu bakaddusseemu, abamu bakwatiddwa nebaggalirwa, saako abasirikale ababadde mu byambalo by'amagye abakubye amasasi mu bifo ebirondererwamu, nga kigambibwa nti babadde n'ekigendererwa eky'okubbirira obululu, era nga waliwo n'abantu abalumiziddwa!!
Ssembabule
Police mu Bbendobendo ly'e Masaka, ekakasizza okukwatibwa kw'abantu babiri mu kunoonyereza kweriko okuzuula abaakubye amasasi mu bantu e Ssembabule, mu kiseera ky'akalulu koomutendera gwa LC Ey'okusatu!!
Omwogezi wa Police mu Bbendobendo ly'e Masaka Twaha Kasirye, agambye nti abaalumiziddwa batwaliddwa mu ddwaliro e Ssembabule n'e Masaka Regional Refferal hospital okufuna obujjanjabi.
Buikwe
Embeera yeemu erabiddwako mu district ye Buikwe etabuse, oluvannyuma lw'amagye okutabangula okulonda.
Wabaddewo okubwatuka kw'amasasi mu kitundu ky'e Mpunge Nkokonjeru , nga kigambibwa nti abavunaanyizibwa ku byokulonda balumbiddwa bannamagye mu mmotoka bbiri, nebagolola Obululu bwonna nebabuteeka mu Boxi zaabwo oluvannyuma nebeggyawo.
Kino kitabudde abavunaanyizibwa ku kulonda, awo abatuuze nebasalawo okwaasaayasa boxi zonna ezissiddwamu Obululu, era okulonda nekuyimirizibwa.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment