Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga ka The Electoral Commission of Uganda mu butongole kamalirizza enteekateeka y’okuwandiika n’okusunsula abanaavuganya ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga mu kalulu akajja mu 2026.

Munna NRM Gen. Yoweri Kaguta Museveni nga yakasunsulwa okuvuganya mu kalulu k’obwapresident bwa Uganda 2026

 

Mugisha Muntuyera Gregory owa Alliance for National Transformation nga yakasunsulwa okuvuganya mu kalulu k’obwapresident bwa Uganda 2026

 

Elton Joseph Mabiriizi owa Conservative Party nga yakasunsulwa okuvuganya mu kalulu k’obwapresident bwa Uganda 2026

Enteekateeka eno emaze ennaku bbiri ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda e Lweza-Lubowa mu district y’e Wakiso,abantu munaana bebasuunsuddwa.

Robert Kyagulanyi Ssentamu owa NUP nga yakamalA okusunsulwa okuvuganya ku bwa president bwa Uganda 2026

 

Mubaraka Munyagwa owa Common Man’s Party nga yakamala okusunsulwa okuvuganya ku bwa president bwa Uganda 2026
Bulira Frank owa Revolutionary People’s Party nga yakamala okusunsulwa okuvuganya ku bwa president bwa Uganda 2026
Nathan Nandala Mafaabi owa FDC nga yakamala okusunsulwa okuvuganya ku bwa president bwa Uganda 2026
Kasibante Robert owa National Peasants’ Party nga yakasunsulwa okuvuganya mu kalulu k’obwapresident bwa Uganda 2026

Abasunsuddwa ye; President Yoweri Kaguta Museveni (NRM), Kasibante Robert (NPP), Mabiriizi Elton Joseph (CP), Nandala Mafabi James Nathan (FDC) , Mugisha Gregory Muntuyera (ANT) , Kyagulanyi Robert Ssentamu (NUP), Munyagwa Mubarak Sserunga (CMP) ne Bulira Frank Kabinga (RPP).

Enteekateeka eno ekulembeddwamu Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon  Byabakama Mugenyi.

 

Omulamuzi Byabakama agambye nti oluvannyuma lw’okusunsulwa, baakutandika okukuba kkampeeyini z’okunoonya akalulu nga 29 September,2025,  bwebanaaba bamalirizza okukkiriziganya ku ngeri y’okutambuzaamu kampeyini zabwe.

Abantu bonna abasunsuddwa tekuli noomu yesimbyewo nga namunigina, bonna basindikiddwa ebibiina ebyenjawulo.

Ku mulundi guno tewali mukyala noomu asunsuddwa. #UgandaDecides2026. #ECRoadmap2026