Akakiiko k’eby’okulonda aka Electoral Commission of Uganda katandise okusunsula abantu abagala okuvuganya ku bifo by’obukulembeze bwa government ez’ebitundu okwetoloola eggwanga.

Abasuunsulwa kuliko abagala ebifo bya ba Mayor b’ebibuga, ba ssentebe ba district, ba kansala, ebifo by’abakiikirira ebibinja by’abantu abenjawulo n’abalala.

Wateereddwawo ebifo ebyenjawulo mu buli district, awagenda okusunsulibwa, era ng’abagala okwesimbala bakukozesa ennaku ssatu okuva olwa leero nga 3 September, okutuuka nga 5 September,2025 okuzzaayo byonna ebyetaagisa ebinabasobozesa okwesimbawo, omuli empapula z’obuyigirize, endagamuntu, receipt kwebasasulidde sente z’okwewandiisa, emikono gy’ababasemba n’ebirala.

Wabula bannabyabufuzi bangi ababadde bakedde e Ntinda Ku kitebe kyakakiiko keby`okulonda ake Kampala ebintu bisoose kubasobera, bwebatuuse okusunsulwa nebagaanibwa, ng`ebyuma by’akakiiko keby`okulonda Kalaga nti tebanaba kusasula.
Bangi balabiddwa nga bekaajanga nga bagamba nti baabadde baasasudde dda.
Wabula akakiiko keby`okulonda kasobodde okugonjola ensonga eno.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda  Julius Muchunguzi ategezezza bannamawuliire nti  ng`ogyeko obuzibu buno bwebasoose okufuna obutonotono, ebisigadde ebirala bibadde bikyatambula bulungi.#