Omwezi omutukuvu ogwa Ramathan 2025 gukomekkerezeddwa.

Obubaka obuvudde e Saudi Arabia bulaze nti omwezi gubonese era Eid El-fitir neerangirirwa nti yaankya ku Sunday nga 30 March, 2025.

Abaddu ba Allah abatanawa  Zakatul fitr bakubiriziddwa okugenda bagiwe nga Eid El-fitr tenasaalibwa.

Akulira ebyeddini ku muzikiti e Kibuli Sheik Yasir Kulumba agambye nti okusala Eid Elfitir ku kasozi Kibuli kwakutandika ku saawa 4 ezokumakya era kugenda kukulemberwamu Supreme Mufti wa Uganda Sheik Muhammed Shaban Galabuzi.

Ku muzikit gwa Kampala mukadde okusala Eid bwakutandika ku saawa 3 era kugenda kulemberwamu Mufti wa Uganda Dr Sheik Shaban Ramathan Mubajje.

Dr Zaid Lubanga, atwala ebyeddini e Kampala mukadde asabye abantu okukwata obudde baleme kusaanga swalati Eid Elfitir ng’ewedde okusalibwa.#