Amawulire
Emmotoka ya Minister Balaam Barugahare Ateenyi esaabadde omugoba wa bodaboda e Kagadi naafiirawo
Namubiru Juliet
July 17, 2025
4:17 PM
Emmotoka ya Minister omubeezi ow’abavubuka n’abaana Balaam Barugahare Ateenyi esaabadde omugoba wa bodaboda e Kagadi naafiirawo, mu gombolola ye Kyomukama mu district ye Kagadi. Mu mmotoka minister ababaddemu n’abantu abalala, babadde boolekera ekibuga Fort Portal okwetaba mu Ttabamiruka w’abavubuka mu Bukama bwa Tooro abeerawo buli mwaka. Okusinziira ku minister Balaam, omugoba wa bodaboda ayingidde oluguudo […]
Emmotoka ya Minister omubeezi ow’abavubuka n’abaana Balaam Barugahare Ateenyi esaabadde omugoba wa bodaboda e Kagadi naafiirawo, mu gombolola ye Kyomukama mu district ye Kagadi.
Mu mmotoka minister ababaddemu n’abantu abalala, babadde boolekera ekibuga Fort Portal okwetaba mu Ttabamiruka w’abavubuka mu Bukama bwa Tooro abeerawo buli mwaka.
Okusinziira ku minister Balaam, omugoba wa bodaboda ayingidde oluguudo omulundi gumu ng’ava ku luuyi olulala, era nti kibadde kizibu omugoba wa mmotoka mwebabadde okumutaasa.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment