Emmotoka lukululana enneetisi y’Amafuta ekutte Omuliro neesaanawo, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.

Bino biguddewo ku makya ga nga  8 February,2025 ku kyalo Kiwawu okumpi n’essamba y’amajaani eya Kiwawu tea estate.

Ayogerera police y’ebidduka mu ggwanga Michael Kananura, agambye nti tebanamanya oba mulimu omuntu afiiriddemu.#

Bisakiddwa: Kato Denis