Abadde omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya avudde mu bulamu be’ensi mu ddwaliro e Lubaga mu Kampala.

 

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi agambye nti maama w’omubaka Sseggirinya Muhammad y’ababikidde.
Omubaka Ssennyonyi nga yakatuuka mu ddwaliro e Lubaga Omubaka Ssegiriinya gy’afiiridde
Ssenyonyi agambye nti ng’ekibiina baviriddwako omusajja abadde ow’amaanyi ,wabula nti bukyanga ava mu komera alwanaganye n’obulwadde okutuusa lw’afudde.

Ssegiriinya yaliko kansala mu lukiiko lwa KCCA ng’akiikirira Kawempe okuva mu 2016 okutuuka 2021.

Mu kalulu ka bonna aka 2021 yesimbawo ku kaadi ya National Unity Plartform naalondebwa ng’omubaka wa.Kawempe North.

Wabula nga wakayita emyezi mibale, yakwatibwa ne mubaka munne owa Makindye West Allan Ssewannyana, government nebaggulako emisango gy’okukulembera ekitta bantu ky’ebijambiya ekyabalukawo mu makati g’omwaka 2021 mu bitundu bye Buddu.

Omubaka Ssewanyana Allan ng’ali mu ddwaliro e Lubaga ewafiiridde omubaka Ssegiriinya Muhammad

Ku alimanda baamalayo omwaka mulamba n’ekitundu,oluvannyuma nebayimbulwa.

Ebbanga lyonna Sseggirinya lyeyamala.mu kkomera embeera y’obulamu bwe yagenda esereba, era okuva obulamu bwe obusinga abumaze mu malwaliro.

Ajjanjabiddwa mu malwaliro agawerako wano mu Uganda, Mu Aghakhan hospital e Nairobi Kenya,mu UMC Hospital mu Amsterdam e Netherlands n’awalala.#