Okusaba ku lunaku lw’abajulizi ba Uganda e Namugongo ku ludda lw’abakatuliki e Bulooli kukulembedddwamu essaza lye Lugazi, ku mulamwa ogugamba nti “Ayi Mukama mpa okulaba nate, Nze omulamazi ow’essuubi”

Omusumba w’e Lugazi Bishop Christopher Kakooza akulembedde e Missa y’olunaku lw’abajulizi e Namugongo

Bishop Christopher Kakooza akubirizza abantu ba Katonda okunyweza okukkiriza kwabwe ng’abajulizi bwebaakola, balyoke bafune eby’amagero.

Mu ngeri eyenjawulo Bishop Kakooza yebazizza Katonda olw’ekkula Eklezia Katulika lyeyatuseeko bweyafunye Omulangira Paapa Leo XIV, ekyazizza essuubi mu bakkiriza.

Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere n’abasumba abalala

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere asabye bannabyabufuzi okubeera ab’emitima egirumirirwa abalala , n’okulowooza ku bukulembeze obukulembeza obuweereza obulungi.

Ssentebe w’olukiiko lw’abepisikoopi mu Uganda era omusumba wa Kiyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa, alambuludde ebimu ku bituukiddwako, omuli okutongoza bayibuli ya “Good News Bible, Martyrs Edition” etereezeddwa ku musingi gw’enjigiriza ya Eklezia Katulika.


Asabye Abakristu okukigula okuva mu Bible Society of Uganda n’amatundiro g’ebitabo amalala.

Choir ekulembeddemu okusiinza ku kiggwa ky’abajulizi e Bulooli.

Ssaabakristu wa Uganda Javez Ndyanabo asabye nti ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu bikomezebwe, naddala ng’eggwanga lyolekera akalulu ka bonna aka 2026.

Omumyuka wa President Museveni, Rtd Maj.Jesca Alupo yeyetisse obubaka bwa president, akubirizza bannaddiini okuyambako government okwagazisa abantu enteekateeka z’ebyenkulaakulana, ate bewale n’okutabiikiriza eby’ebyobufuzi mu ddiini.

Abasitikale ba Paapa
Abasaserodooti abavudde mu masaza g’eklezia agenjawulo
Kiragala omulungi bwati ajjukiza abalamazi okukuuma obutonde bw’ensi mu bitundu by’ensi ebyenjawulo gyebava
Centenary bank kye kimu ku bitongole ebiwagidde enteekateeka z’emikolo
Langi z’eggwanga okuli eya kyenvu,enzirugavu,emyufu n’enjeru zooleseddwa, okuggyayo obulungi ekifaananyi ky’abajulizi ba Uganda
Wabaddewo akagugumuko n’okukuba akaluulu ak’oluleekereeke ku kiggwa ky’Abajulizi e Bulooli Namugongo abakkiriza abamu bwebalabye ekire ekitangalijja mu ngeri etali ya bulijjo nga kyetondese ku njuba okumala eddakiika nga 15, kyebayise “Maama Maria” abeyolese mu kusaba kuno
Commissonner wa Parliament era omukulembeze w’ekibiina ky’ebyobufuzi Democratic Front Mathias Mpuuga Nsamba

 

Minister Diana Mutasingwa ne minister Justine Kasule

Bannabyabufuzi abalala bangi okuli ba minister n’ababaka ba Parliament beetabye mu Mmisa y’olunaku lw’abajulizi e Namugongo.

Abalamazi abavudde mu mawanga agenjawulo nabo babadde bangi ddala.