Amawulire
Omukka omuddugavu guzzeemu okufuluma e Vatican – ba kaliddinaali 133 tebanalondako Paapa
Namubiru Juliet
May 8, 2025
11:09 AM
Olukiiko lwa bakaliddinaali 133 (Conclave) luzzeemu okufulumya omukka omuddugavu okuva mu Sistone Chapel gyebalondera Paapa ow’omulundi ogwe 267. Omukka omuddugavu ogwasoose gwafulumye mu lunaku lwebaasoose okulonderako nga 07 May,2025, era nga n’olwaleero nga 08 May, bakakuba akalulu emirundi 2 naye tebanazuula Paapa. Oluvannyuma lw’omukka omuddugavu okufuluma eri ensi yonna erindirodde, bawummuddemu, balyoke baddemu okukuba […]
Olukiiko lwa bakaliddinaali 133 (Conclave) luzzeemu okufulumya omukka omuddugavu okuva mu Sistone Chapel gyebalondera Paapa ow’omulundi ogwe 267.
Omukka omuddugavu ogwasoose gwafulumye mu lunaku lwebaasoose okulonderako nga 07 May,2025, era nga n’olwaleero nga 08 May, bakakuba akalulu emirundi 2 naye tebanazuula Paapa.
Oluvannyuma lw’omukka omuddugavu okufuluma eri ensi yonna erindirodde, bawummuddemu, balyoke baddemu okukuba akalulu akasuubirwa okulonderwako Paapa addako owe 267, anaadda mu bigere by’omugenzi Paapa Francis.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment