Omulabirizi w’e Namirembe  Rt.Rev.Bishop Moses Bbanja akubirizza abakulisitaayo  okukwasizaako  government mu nteekateeka zeeriko okuzaawo obutonde bw’ensi, okutaasa eggwanga eribadde ly’olekedde akaseera akazibu.

Omulabirizi Banja agambye nti ekirowoozo kya government ng’eyita mu kitongole kya NEMA eky’okuzaawo obutonde bw’ensi obubadde butaaguddwa kirungi, wabula era agisabye erowooze ne ku ngeri gyeyinza  okuyambako abantu ababundabunda  abagobeddwa  mu ntobazi  naddala mubitundu byomu Lubigi.

Omulabirizi Moses Banja asinzidde mu kusaba   n’okusaako emikono abaana abawerera ddala 450, mu kkanisa y’omutukuvu  Matayo  mu Busumba  bwe Bbira mu bussaabadinkoni bwe Nateete.

Bishop Banja mungeri yemu era ategezezza nti ekkanisa ya Uganda nayo yakwenyigira butereevu mu lutalo lw’okuzaawo  obutonde bwensi, nga Kati buli mirimu egyinaakolebwanga mu kkanisa, gyakukulemberwangamu okusiimba emiti.

Akubirizza abakulisitaayo  okukola ekintu kyekimu  mu maka gaabwe.

Ssabadinkoni we Nateete Ven. Canon Godfrey B.K Buwembo ategezezza nga omuwendo gw’abantu abeeyongedde okusenga munbussabaddinkoni buno, bubongedde amaanyi okutandikawo amakkanisa amalala .

Omusumba w’Obusumba bw’e Bbira Rev. Ssalongo James Lubega yeebaziza abakulisitaayo mubusumba bwakulembera olw’okukwatira awamu  obusumba buno okubeera ekyokulabirako.

Mungeri yemu ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Wakiso Elly Kasirye  era nga yemuwanika w’Obusumba buno asiimye bannaddiini okuvaayo okwenyigiramu nsonga z’okutaasa nookuzaawo obutonde bw’ensi.

Bisakiddwa: Ngabo Tonny