Amawulire
Omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi ku Buseesa mixed Day and boarding primary School e Bugweri
Namubiru Juliet
September 29, 2025
8:24 PM
Ebintu by’abayizi b’essomero Buseesa mixed day and boarding primary school e Bugweri byabukadde bwa nsimbi, bitokomokedde mu nnabbambula w’omuliro akutte ekisulo kyabwe emisana. RDC we Bugweri Magala Banuuri agambye nti abatuuze bagezezaako okuguzikiza wabula negubasinza amaanyi, ate police wetuukidde ebintu bibadde bifuuse muyonga. Ekiviiriddeko omuliro okukwata tekinaba kutegeerekeka. Bisakiddwa: Kirabira Fred
Ebintu by’abayizi b’essomero Buseesa mixed day and boarding primary school e Bugweri byabukadde bwa nsimbi, bitokomokedde mu nnabbambula w’omuliro akutte ekisulo kyabwe emisana.
RDC we Bugweri Magala Banuuri agambye nti abatuuze bagezezaako okuguzikiza wabula negubasinza amaanyi, ate police wetuukidde ebintu bibadde bifuuse muyonga.
Ekiviiriddeko omuliro okukwata tekinaba kutegeerekeka.
Bisakiddwa: Kirabira Fred
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment