Amawulire
Omuliro gusaanyizaawo ennyumba ya ssentebe w’ekyalo mu district y’e Mpigi – abawaka bonna tebabaddeewo
Namubiru Juliet
February 12, 2025
10:40 PM
Omuliro ogutannamanyika kweguvudde gukutte negusanyaawo ennyumba ya ssentebe w’ekyalo Lwajja-Kinaakukka mu gombolola ye Kituntu mu district ye Mpigi. Ennyumba ya ssentebe Monday Katula Vicent egenze okukwata omuliro ng’abaawaka bonna tebaliiwo. Abatuuze bagamba nti omuliro gutandiise ku saawa nga kumi ez’olweggulo era tewali kintu nakimu kitaasiddwa mu maka gano. Police etuuse ku kyalo kino naye esanze […]
Omuliro ogutannamanyika kweguvudde gukutte negusanyaawo ennyumba ya ssentebe w’ekyalo Lwajja-Kinaakukka mu gombolola ye Kituntu mu district ye Mpigi.
Ennyumba ya ssentebe Monday Katula Vicent egenze okukwata omuliro ng’abaawaka bonna tebaliiwo.
Abatuuze bagamba nti omuliro gutandiise ku saawa nga kumi ez’olweggulo era tewali kintu nakimu kitaasiddwa mu maka gano.
Police etuuse ku kyalo kino naye esanze buli kintu kiweddewo.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment