Nabbambula w’omuliro akutte ekisulo ky’abayizi abawala ku Ttendekero ly’ebyemikono erya Butende Vocational Training Institute mu kibuga Masaka  ebintu bya bukadde bw’ensimbi bisanyiziddwawo.

 

Omuliro gukutte mu ttuntu nga kiteeberezebwa nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.

Aba RedCross Societ of Uganda nga bayambako abayizi n’abasomesa b’ettendekero okuzikiza omuliro

Akulira ettendekero lino era nga ye sipiika w’olukiiko lwa Masaka City, Mawanda Achilles agambye  nti ebintu by’abawayizi biweddewo, n’akasolya nekagwamu, wabula nga tewali muyizi ajjiiriddemu.

Bisakiddwa: Tomusange Kayinja