Eggye erikuuma omukulembeeze w’eggwanga erya SFC likutte musajja walwo agambibwa okulumba famire emu mu bitundu bye Namale  mu ggombola ye Buwaya mu Distrct ye Mayuge nakuba abantu  ba famile  ye 4 amasasi agaabattirawo.

Omukwate ye Birivumbuka Herbetson Robert nga akolera mu SFC, nti wabula yatoloka ku mulimu nagenda ku kyalo Namale nasasita amasasi mu bantu munaana okukakana nga 4 bafiiriddewo.

Abattibwa kuliko eyali nnyini maka Mudhaasi Tenywa owe myaka  42,  Elesi Kafuko 15, Kantono Resty 13, ne Nickolas Mudhaasi 6.Abalala 4 bakyali mu ddwaliro bapooca okuli maama n’abaana 3.

Birivumbuka okukwatibwa nga waliwo abalala 3 abaasoose okukwatibwa Police e Mayuge,  nga kigambibwa nti nabo baliko kyebamanyi kuttemu lino.

Abakwate  kuliko Patrick Tagaba owe myaka 67, Samanya Mudhaasi  32 ne Mukyaalawe Grace Kalungi.

 Omwogezi wa SFC Maj Jimmy Omara  agamba nti obujulizi bwebakakunganyaawo buluma Birivumbuka okwenyigira mu ttemu, ng’akadde konna wakutwalibwa mu mbuga zamateeka avunaanibwe,

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius