Parliament ya Uganda etudde mu ngeri ey’enjawulo, okukungubaga n’okusiima emirimu gy’abadde Omubaka wa parliament owa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya.
Omubiri gwa Ssegiriinya gutuusiddwa mu parliament ku ssaawa bbiri n’eddakiika ttaano.
Sipiika wa parliament Anitah Annet Among, kalaani wa parliament Adolf Mwesige n’abakaka abalala saako ab’oluganda abakulembeddwamu maama we babaddewo nga bagulindiridde.
Ekiteeso ekisemba okumukungubagira kyanjuddwa omubaka we Bugweri Abdu Katuntu, nekisembebwa ababaka bonna ababaddewo.
Outuula lutandise mu ssaawa ssatu wabula tewabadde minister n’omu, so nga n’ababaka babadde bakyali bamuswaba.

Obutafaanano nga bulijjo,  Ssaabaminister w’eggwanga oba omumyuka we nga yayanjula ekiteeso  ekisiima Omubaka yenna abeera afudde, omulundi guno ekiteeso kino kyanjuddwa omubaka  wa Bugweri Abdu Katuntu, olwa saabaminister oba abamyuka be obutabaawo.

Omubaka wa munisipaali ye  Bugiri Asuman Basalirwa  yemulugunyiza olwa government okwesamba olutuula luno, n’agamba nti nti kabonero kabi nnyo eri parliament.

Wabula oluvannyuma omumyuka ow’okusatu owa  Ssaabaminister Lukia Nakadaama atuuse neyetonda era n’ategeeza nti naye abadde mulwadde.

Katuntu ayogedde ku mubaka  Ssegiriinya ng’omuntu abadde omuvumu mu byakkiririzaamu eyatandiikira mu nfuufu omukama namulinyisa eddaala olw’okwewaayo,okwekkirizaamu n’obuvumu.#