Parliament eyisizza embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2025/26  ya trillion  72.375.
Embaririra eno etunuulidde okukulakulanya eggwanga n’okutumbula ebyenfuna byabantu, wabula waliwo alipoota eyabatono egikubyemu ebituli.
 Embarira eno esomeddwa amyuka ssentebe w’akakiiko kembaririra y’eggwanga Remigio Achia eraze nti ebitundu 38% ebyensimbi, byakusaasanyizibwa ku mabanja agabanjibwa eggwanga, ate ebitundu
16 % byakusasula misaala gy’abakozi ba government.
Enteekateeka ya goverment eyokuggya abantu mu bwavu eya parish development model eteereddwamu  Trillion 1.075, atte Emyooga negitekebwamu obuwumbi kikumi.
Alipoota y’abatono esomeddwa  minister w’ebyensimbi ku ludda oluwabula goverment Ibrahim Ssemujju Nganda eraze nti embaririra eyisiddwa  tegeenda kugasa muntu wawansi.
 Yeekokodde okwejalabya okususse  mu maka g’obwa president agagenda okuweebwa obutitimbe bw’ensimbi nemusiga nsimbi amanyiddwa nga Peneti awereddwa ensimbi zayise ezokwejalabya.
Ababaka abalala nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi  basoose kusimbira kkuuli alipoota yabanji, nga  babadde baagala government ewe embalirira ku nsaasanya y’ensimbi zezze eteeka mu pulojekiti ez’enjawulo, wabula government etegeezezza nti yakunnyonyola  ku nsonga eyo mu maaso.
Embaliriya ya 2025/2026 esuubirwa okusomwa mu bujjuvu nga 12 June,2025.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka