Police  mu Kampala n’emiriraaano eggalidde abavubuka 2 nga kigambibwa nti banyagako  omuzungu nga Omungereza nsimbi  obukadde 25 nga bakozesa Olukujjukujju.
Ababiri abakwatiddwa ye Kizito Jonathan eye eyita Jona nga wa myaka 27 ne Kyalimpa Titus owemyaka 20, nga bonna batuuze be Kawaala Central Zone mu gombolola ye Rubaga.
Kigambibwa nti wakati w’Omwaka 2020 ne 2024, baawuddiisa Munnansi wa Bungereza John Bridges, nga baamulimba nti zakukozesebwa okuyambako abaana abatalina mwasiriziri, mu bitongole ebyenjawulo mu Uganda.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyamgo agambye nti abakwatebabanoonyerezaako nebazuula ng’ensimbi olwazifuna baazikozesa  byabwe, era nga bakutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe olw’okwefuula nebatali nebanyaga ensimbi mu lukujjukujju.
Bisakiddwa: Kato Denis