President wa Uganda Yoweri Kaguta Musegveni era nga yakwatidde NRM bendera ku bwa president mu kalulu akajja aka 2026 agambye nti enkola ey'okussaawo ennaku ez'okuwummula ku nnyanja za Uganda awatali kukkiriza muntu yenna kuvuma mu nnaku ezo, kyakuyamba ebyennyanja okuzaala ebyennyanja ebiwera.
Agambye nti enkola eno ekozeseddwa mu mawanga agawera era negafunamu, omuli okwongera okuwa abavubi emirimu n'okulinnyisa ennyingiza yabwe, n'ensimbi eggwanga zerifuna okuva mu byennyenja ebitundibwa ku katale k'ensi yonna nazo nezirinnya.
President Museveni abadde mu lukuηaana lwakubye ku kisaawe kya  Namayingo Primary School mu district ye Namayingo gyasabidde abaayo okumuyiira akalulu mu kulonda okujja. Abantu b'ekitundu ekyo bangi bavubi, era abasuubizza wakwongera okutereeza embeera y'abatuuze ng'abatusaako obuweereza obwenjawulo, omuli eby'obulamu, eby'enjigiriza n'obuvubi bwebasinga okufunamu ensimbi. Abawadde amagezi okwettanira okulunda ebyenyanja nga beyambisa ensimbi eziva mu Parish Development Model n'emyooga. Abasuubizza n'okubatusaako amazzi amayonjo okuva ku bitundu 72% agaliyo, ebitundu byonna bibunyisibwe amazzi amayonjo. Omumyuka asooka owa Ssaabaminister wa Uganda Rebecca Alitwala Kadaga asabye abantu be Busoga okulonda president Museveni, nti wakuggusa ebintu ebyenjawulo ebitandikiddwako mu kitundu.