Eyali omulamuzi wa kooti ensukkulumu, omusomesa w’amateeka, era omuwandiisi w’ebitabo Prof. George Wilson Kanyeihamba aziikiddwa olwa leero nga 29 July,2025, mu maka ge agasangibwa e Buziga mu gombolola ye Makindye mu Kampala.

Prof. Kanyeihamba yafa nga 14 July,2025 mu ddwaliro e Nakasero, ku myaka 85 egy’obukulu.

Namwandu, abaana n’abazzukulu nga baganzika ekimuli ku ssaanduuko omugalamizidwa omugenzi Prof. George Wilson Kanyeihamba

 

Aziikiddwa ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi abavudde mu buweereza obwenjawulo.

Wasooseewo okumusabira okutegekeddwa mu kisaawe ky’essomero lya Kabojja International School ettabi  Buziga eririnaanye amaka ge, n’oluvannyuma n’aziikibwa mu maka ge.

Aziikiddwa mu bitiibwa by’eggwanga ebijjuvu, era government emukubidde emiziinga 6, olw’emirimu geyakolera eggwanga wakati mu kwewaayo n’obuteebalira mu buweereza bwonna bweyalimu.

Okumusabira kukulembeddwamu omuyambi  w’Omulabirizi wa Kampala Diocese, Rt.Rev. Can. Jackson Fredrick Baalwa.

 

Can. Baalwa akubirizza bannauganda okulabira ku birungi ebikoleddwa Kanyeihamba, naddala nga bakulembeza obwenkanya mu buli kyebakola.

Bishop wa Kigezi Diocese Rt.Rev.Gaddie Akanjuna agambye nti Kanyeihamba abadde mu musaale mu nkulaakulana y’eggwanga, era okumululo gwalese gubadde gw’amaanyi.

Bishop Akanjuna agambye nti Kanyeihamba yoomu ku baataandika Kabale University.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Prof. Kanyeihamba abadde assa ekitiibwa mu Kabaka, era abadde akyogera lunye, sso nga n’ebikolwa bye bibadde byeraga lwatu.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awerekeddwako amyuka sipiika w’Olukiiko lwa Bugamda Owek. Ahmed Lwasa (ku kkono) ne Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika, nebaganzika ekimuli ku ssanduuko omugalamiziddwa Prof. George Wilson Kanyeihamba,

Eyaliko Ssaabaminister wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda agambye nti Prof. Kanyeihamba yalaama kumuziika mu maka ge e Buziga, era neyebaza Ssaabasajja Kabaka okukkiriza musajja we naaziikibwa mu maka ge agatudde ku ttaka lya Kabaka, era neyebaza ne government ne KCCA okussa ekitiibwa mu kiraamo ky’omugenzi.

Abantu abalala bangi Prof. Kanyeihamba bamwogedde ebintu bingi, nga munnamateeka, munnabyabufuzi, omusomesa w’amateeka, omukulembeze n’ebintu ebirala bingi.

Abalamuzi ne bannamateeka bangi betabye mu kuziika Prof.Kanyeihamba nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alphonse Awinyi Ddollo.

President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi, eyali Ssaabaminister John Patrick Amama Mbabazi bebamu ku betabye mu kuziika prof. Kanyeihamba.

Ebyafaayo:
Prof. George Wilson Kanyeihamba yazaalibwa nga 11 August,1939, ku kyalo Kinaba mu district ye Kinkizi esaangibwa mu kitundu kye Kigezi.
Yasomera ku Kigezi High School, Busoga College Mwiri ne Norwich City College.
Yafuna bachelor’s degree mu  by’amateeka okuva mu Portsmouth University, ne Doctorate of laws okuva mu Warwick University mu Bungereza.
Prof. Kanyeihamba yaliko omulamuzi wa kooti ensukkulumu okumala emyaka 12, wakati wa 1997 okutuuka mu 2009.
Yali ssentebe w’akakiiko akaabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995.
Mu 2006, yalondebwa okutuula ku kooti ya Africa ewuliriza emisango gy’okulinnyirira eddembe ly’obuntu ( African court on human and People’s Rights).