Akakiiko keby`okulonda mu kibiina kya UPC kasunsudde  Jimmy Akena ne Enap Adim Dennis, okuvuganya ku bwa president bw’ekibiina kino,  n`okulondako anaakwatira ekibiina kyabwe bendera u bukulembeze bwe ggwanga.

Hajji Kazimbiraine Mahmoud akulira akakiiko keby`okulonda mu kibiina kya UPC, agambye nti abantu basatu bebaggyayo empapula okuvuganya u bwa president bwa UPC, wabula babiri boka bebaazikomezaawo era nebasunsulwa.

Ow`okusatu eyaggyayo empapula naye natazikomyawo, ye Moses Higenyi Kemba.

Hajji Kazimbiraine ategezeeza nti bano ababiri abasusunddwa, anayitamu yagenda okubeera president wa UPC emyaka 5 egiddaako, ate era yagenda okukwatira ekibiina kino bendera ku bwa president mu kalulu ka 2026.

 

Bisakiddwa: Musisi John